Ssenkulu wa Kitongole ekya Kabaka Foundation Omukungu Edward Kaggwa Ndagala asabye government okwongera amaanyi mukubangula abantu bonna ku birungi ebiri mu kugaba omusaayi, nti kubanga tewali kkolero gyegusobola kukolebwa.

Omukungu okwogera Bina abadde mu ayogerako eri abantu ba Ssabasajja Kabaka mugombolola lye Ssabagabo Lwabyata ne Mutuba III Lwampanga mu ssaza Buluuli.

Omwami wa Kabaka atwala egombolola ye Ssabagabo Lwabyata Tebajjukira Ibrahim asabye abantu okujjumbira enteekateeka y’okugaba omusaayi era neyeyanza nnyo Ssabasajja Kabaka olwenteekateeka eno.
Okugaba omusaayi mu ssaza Buluuli kukomekkerezebwa ku Friday ya wiiki eno.
Bisakiddwa: Nakato Janefer