• Latest
  • Trending
  • All
Okusaala Eid Adhuha – Abasiraamu basabye government ebeeko kyekola okukendeeza ebbeeyi y’ebintu

Okusaala Eid Adhuha – Abasiraamu basabye government ebeeko kyekola okukendeeza ebbeeyi y’ebintu

July 9, 2022
Shaban Muhammad azeeyo mu KCCA FC

Shaban Muhammad azeeyo mu KCCA FC

August 9, 2022
Omubaka Twaha Kagabo akwatiddwa – IGG atandise okunoonyereza ku babaka abaaweebwa obukadde 40

Omubaka Twaha Kagabo akwatiddwa – IGG atandise okunoonyereza ku babaka abaaweebwa obukadde 40

August 9, 2022
BannaDP bongedde okutema empenda ez’okugoba Nobert Mao ku bwa president

BannaDP bongedde okutema empenda ez’okugoba Nobert Mao ku bwa president

August 9, 2022
Uhuru Kenyatta agambye nti okulonda kwe Kenya kwa Africa yonna

Uhuru Kenyatta agambye nti okulonda kwe Kenya kwa Africa yonna

August 9, 2022
Bannakenya batandise okukuba akalulu – william Ruto amalirizza okulonda

Bannakenya batandise okukuba akalulu – william Ruto amalirizza okulonda

August 9, 2022
Aba NUP 2 basingisiddwa ogwókusangibwa nóbukofiira obumyufu – balindiridde bibonerezo

Aba NUP 2 basingisiddwa ogwókusangibwa nóbukofiira obumyufu – balindiridde bibonerezo

August 8, 2022
Bannakenya abesogga Uganda beyongedde obungi – Kenya egenda mu kalulu

Bannakenya abesogga Uganda beyongedde obungi – Kenya egenda mu kalulu

August 8, 2022
Maama w’omubaka Sseggirinya akedde wa Nobert Mao – abasirikale bamugobye

Maama w’omubaka Sseggirinya akedde wa Nobert Mao – abasirikale bamugobye

August 8, 2022
NUP ne FDC batabuddwa – gwebaasimbawo e Ggogonyo olwokaano aluvuddemu

NUP ne FDC batabuddwa – gwebaasimbawo e Ggogonyo olwokaano aluvuddemu

August 8, 2022
Bataata balina okufaayo okumanya nti abaana bayonka bulungi – bakugu

Bataata balina okufaayo okumanya nti abaana bayonka bulungi – bakugu

August 7, 2022
Bus etomedde Fuso esimbye ku kkubo – 63 basimattuse

Bus etomedde Fuso esimbye ku kkubo – 63 basimattuse

August 7, 2022
Ssingo eraze Buvuma eryanyi

Ssingo eraze Buvuma eryanyi

August 6, 2022
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation
  • Login
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Okusaala Eid Adhuha – Abasiraamu basabye government ebeeko kyekola okukendeeza ebbeeyi y’ebintu

by Namubiru Juliet
July 9, 2022
in Amawulire
0 0
0
Okusaala Eid Adhuha – Abasiraamu basabye government ebeeko kyekola okukendeeza ebbeeyi y’ebintu
0
SHARES
42
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Okusaala eid ku muzikiti gwa Kampala mukadde

Abaddu ba Allah bonna okwetoloola ensi yonna bagyaguza olunaku lwa eid Adhuha, eyokusala ebisolo, era nga lutuukidde mu kiseera nga embeera yebyenfuna yekanamye olw’ebbeeyi y’ebintu.

Okubuulira mu mizikiti egy’enjawulo okwetoloola Uganda, ba masheik bawanjagidde government esseewo ezamangu ezisobola okuyambako okukendeeza ebbeeyi y’ebintu, nga nabamu ekyabalemesezza okugula ensolo z’okusala.

Okutuukiriza sunnah y’okusadaaka ebisolo gwe gumu ku mirimu emikulu egikolebwa ku lunaku luno.

Basaalidde ku Kampala mukadde

Okusala ebisolo kabonero ak’okujjukira ekikolwa kya Nabbi Ibrahim, Allah gweyalagira okusadaaka omwana we Ismael ng’agezesa okukkiriza kwe, wabula oluvanyuma namuwaamu endiga gyeyasadaaka.

Mufuti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje asaalidde ku muzikiti gwa Kampala Mukadde neyennyamira olwa government okusirika obusirisi ng’ebbeeyi y’ebintu yeyongera okupaala.

Agambye nti noobutali bwenkanya busaanye bukome, naawa eky’okulabirako ekya government okwongeza emisaala abasomesa ba science aba Arts nebalekebwa ebbali so mga bonna embeera y’ebyenfun ebakosa kyenkanyi

Mubajje era yebazizza Allah olw’obulwadde bwa Covid-19 okukakanaako, ekyasobozeseeza abaddu ba Allah omwaka guno okugenda e Mecca okukola Hijja.

Mu ngeri yeemu akulira abatabukiriki e Nakasero Amir sheik Yunus Kamoga alabudde abakulembeze  boobusiramu abasibye entalo mu diini nti bano bebalabe be ddiini yóbusiramu era balina okukikomya.

Sheik Kamoga Eid agisaalidde ku ssomero lya Nakivubo Blue Primary school, n’ategeeza nti entalo abatabuliki bazisobola bulungi naye kumulundi guno,batunuulidenyo okwegata okubunyisa obusiramu mu bantu.

District Khadi wa Sembabule Sheikh Abudallah Ssemakula asabye abantu bonna naddala abakulembeze buli kyebakola okukisaamu Katonda nti lwebanaaweereza abantu n’obwenkanya.

Sheik Ssemakula abadde mu kusaala Eid eno okubadde ku muzigiti omuppya ogw’e Kizimiza mu ggombolola ye Lwebitakuli, era nga RDC wa Sembabule Hahaya Were saako Oc Station wa Poliisi ye Hidujja Abudnasser nabo webasaalidde.

Babadde ku Kampala mukadde

Masigid enkulu e Lwebitakuli, Sheikh Muusa Umar Kiguddu owa Sharia ajjukiza abasiraamu nti okusala ebisolo ku lunaku luno nti kyankizo nnyo, kyokka nabasaba nga basanyuka okwewala ebidongo ate n’okulya nga tebadibuuda.

Hajji Sulait Mulumba, Ssentebe w’Obusiraamu e Sembabule naye asinzidde mukusaala e Mateete nawanjagira abantu bonna okulwanirira emirembe n’olutalo lwa Ukraine ne Rassia lukome.

Sheikh Jabeeri Umaru asinzidde mu kusaaza kumuzigiti e Miteete nayozayoza abasiraamu okutuuka ku lunaku luno kyokka n’abasaba okusaala kulwa Allah, sso ssi kweraga nakabampane n’ebanandaba batya.

Ku muzikiti gwa masigidi lauza e Matanga mu Buddu sheik Ahmadah Ibrahim Kiyemba yasaazizza Eid, nasaba government okubaako kyekola ku bbeeyi y’ebintu eyeyongera okulinna naddala amafuta.

Okusaala Eid Ku muzigiti e Kalangala Kutandise, kukulembeddwamu Shiek Musa Kaddugala, District Khadi we Kalangala.

Ssentebbe wa District e Kalangala Rajab Ssemakula naye yetabye mu kusaala Eid.

Mu mizikiti emirala okuli Kasekulo, Kisaba, Kachanga n’ewalala abasiraamu basadde mu bungi.

Abayisiramu mu district ye Bukomansimbi ku muzikiti gwe Mbaale – Meeru mu Butenga Town Council nga bakulembeddwamu Sheik Kassim Muzeeyi bawanjagide Allah nanyini buyinza,akyuse embeera asonyiwe abaddu be,nti kuba embeera eriwo okuli entalo mu mawanga agamu,ekyeya wamu n’ebeeyi y’ebintu eyekanamye bibuzizaako omwana w’omuntu emirembe.

Bano eid banisaalidde Jinja

Abasiramu ku musikiti gwa Masijid Noor Katale Bukwenda mu district ye Wakiso batabukidde abakulembeze bóbusiramu abamazeewo ettaka lyóbusiraamu nebegagawaza.

Bano obubaka babutidse amyuka district Kadth wa Wakiso Sheik Sowedi Zubail Kayongo akulembeddemu okubuulira mu muzikiti guno.

Ebifaananyi: Musa Kirumira

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Shaban Muhammad azeeyo mu KCCA FC
  • Omubaka Twaha Kagabo akwatiddwa – IGG atandise okunoonyereza ku babaka abaaweebwa obukadde 40
  • BannaDP bongedde okutema empenda ez’okugoba Nobert Mao ku bwa president
  • Uhuru Kenyatta agambye nti okulonda kwe Kenya kwa Africa yonna
  • Bannakenya batandise okukuba akalulu – william Ruto amalirizza okulonda

Recent Comments

No comments to show.

News sectioning

Plugin Install : Widget Tab Post needs JNews - View Counter to be installed
  • Trending
  • Comments
  • Latest
Eggaali y’omukka etomedde abadde asala oluguudo lwayo – abadde atadde obuwuliriza mu matu

Eggaali y’omukka etomedde abadde asala oluguudo lwayo – abadde atadde obuwuliriza mu matu

July 25, 2022
Omuliro gukutte ekisulo ky’abayizi e Iganga

Omuliro gukutte ekisulo ky’abayizi e Iganga

July 25, 2022
Soma ku byafaayo by’emmotoka ya Rolls Royce eyakwasiddwa Ssaabasajja Kabaka ku mazaalibwa ge age 67

Soma ku byafaayo by’emmotoka ya Rolls Royce eyakwasiddwa Ssaabasajja Kabaka ku mazaalibwa ge age 67

July 18, 2022
Ofono Opondo wetondere Lukwago – bannabyabufuzi

Lord Mayor Erias Lukwago ayagala obukadde 500 – atutte Ofwono Opondo mu kooti

August 3, 2022
Mao – the genius who outwitted the nation

Mao – the genius who outwitted the nation

July 25, 2022

The co-founder of Quality Chemicals dies.

0

Uganda, TOTAL Agree on Pipeline Project.

0

South Sudan reopens schools after 6-month lockdown.

0

President Yoweri Museveni is in Tanzania to sign an implementation agreement for the East Africa Crude Oil Pipeline (EACOP) project.

0

NUP Coordinator Accuses Police Of Torture

0
Shaban Muhammad azeeyo mu KCCA FC

Shaban Muhammad azeeyo mu KCCA FC

August 9, 2022
Omubaka Twaha Kagabo akwatiddwa – IGG atandise okunoonyereza ku babaka abaaweebwa obukadde 40

Omubaka Twaha Kagabo akwatiddwa – IGG atandise okunoonyereza ku babaka abaaweebwa obukadde 40

August 9, 2022
BannaDP bongedde okutema empenda ez’okugoba Nobert Mao ku bwa president

BannaDP bongedde okutema empenda ez’okugoba Nobert Mao ku bwa president

August 9, 2022
Uhuru Kenyatta agambye nti okulonda kwe Kenya kwa Africa yonna

Uhuru Kenyatta agambye nti okulonda kwe Kenya kwa Africa yonna

August 9, 2022
Bannakenya batandise okukuba akalulu – william Ruto amalirizza okulonda

Bannakenya batandise okukuba akalulu – william Ruto amalirizza okulonda

August 9, 2022
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist