
Ensimbi ezisoba mu shilling obuwumbi 300 ezafulumizibwa government okulwanyisa ekirwadde kya Covid 19 zaabulankanyizibwa.
Mu mwaka gw’ebyensimbi 2019/2022 government yafulumya trillion 4 n’obuwumbi 360 mu nteekateeka zonna ezaali ez’okulwanyisa Covid 19.
Bwabadde yeetabye ku mikolo egyokukuza olunaku lw’okulwanyisa obulyi bw’enguzi mu Africa, olwakwatiddwa ku Imperial Royale Hotel mu Kampala, IGG Betty Kamya yagambye nti Uganda efiiriddwa ensimbi nnyingi ddala mu kiseera kya Covid 19.
Annyonyodde nti ensimbi eziri mu buwumbi 311 ezaali ez’okugula ebintu by’okulwanyisa ekirwadde tebyagulibwa, era nga waliwo abantu abanoonyerezebwako.
Betty Kamya agambye nti emisango egisoba mu 41, gyejaawabwa mu wofiisi ye jinonyerezebweko, ng’egimu ginatera okuggwa ate emirala tejinatandikibwako.
Annyonyodde nti olwokuba ng’agantu beyongedde omumanyisibwa ku bikwata ku nguzi, bangi bongedde okubatemyako ku bebabeera bateebereza okubeera abalyake, naddala abakozi ba government.
Mungeri yeemu, omukago ogutaba enzikiriza z’eddiini ogwa Inter Religious Council of Uganda, (IRCU), guyingidde mu lutalo lw’okulwanyisa obulyi bwenguzi mu ggwanga, nga gukwatagana neebitongole ebyenjawulo mu lutalo luno.
Bishop Joshua Lwere, ssentebe w’ekitongole ekikulemberwa bannadiini abeewaddeyo okulwanyisa enguzi, okuyita mu mukago gwa Inter religious council of Uganda, awanjagidde banna Uganda bonna, bakolaganire wamu okulwanyisa enguzi noobulyake.
Bisakiddwa: Ddungu Davis