
Ba kominsona 4 nga bakulembwddwamu Amyuka akulira akakiiko k’ebyokulonda mu Kenya aka Independent Electoral and Boundaries Commission Juliana Cherera, bawakanyizza ebigenda okulangirirwa ebivudde mu kulonda president wa Kenya owookutaano.
Cherera ne banne basinzidde ku Serena hotel mu Kenya, n’ayogerako eri bannamawulire n’agamba nti enteekateeka y’okubala akalulu emabega wonna ebadde etambula bulungi, nti wabula gyebisembedde wabaddewo byebekengedde nga tebitegerekeka.
Akakiiko ka IEBC katuulako ba kaminsona 7, abana bebabiwakanyizza.
Mu ngeri yeemu wabaddewo akavuvungano mu kifo awagenda okulangirirwa president w’e Kenya ku Bomas, era ng’abebyokwerinda baliko abantu bebatutte nga tebalinnya.
Abavuganya ku kifo kino basatu webali ku Bomas, Ruto, Wajackoyah ne Waihiga, wabula Raila Odinga tazze.
Abakuliddemu enkambi ya Odinga bagamba nti babadde tebayinza kukkiriza muntu wabwe kujja ku Bomas, nga tebasoose kukakasa bivudde mu kalulu
Ekibuga Nairobi abasuubuzi amaduuka baagaggadde nga beekengedde ebiyinza okuddirira.
Wofiisi za government nézobwannanyini nazo zaggaddwa.
Abantu amaaso gabali ku ntimbe za TV mu maka gabwe n’eziri ku nguudo nga bagoberera ebigenda mu maaso ku Bomas e Kenya.