Ebibiina by’obwegassi n’enkulakulana biwezezza emyaka 100 bweddu kasookanga bitandikibwawo munsi yonna.
Mu ngeri yeemu giweze emyaka 28 bukyanga kibiina kyámawanga amagatte ekya United Nations kyenyigira mu kawefube wókutumbula obwegassi.
Emikolo emikulu wano mu Uganda giyindira Kabwohe municipality mu district ye Sheema.
Waategekeddwawo omusomo ogwenjawulo oguyindidde ku Lake View hotel e Mbarara okukubaganya ebirowoozo ku ngeri yókwongera okutumbula obwegassi mu ggwanga.
Minister w’eby’obusuubuzi, amakolero, n’ebibiina by’obwegassi, Francis Mwebesa, agambye nti enteekateeka z’okuzzaawo banka yaabegassi wamu n’ebibiina by’obwegassi yetaaga okwongerwaamu amaanyi wano mu Uganda nti kubanga bazudde ngábantu bangi ababiganyulwamu.
Agambye nti ekyetaagisa kati kwekusomesa abantu obukulu bw’ebibiina byóbwegassi nga bwebyali edda, kiyambeko okutwala eggwanga mu maaso.
Annyonyodde nti ebibiina ebiriwo byetaaga okwongerwamu amaanyi mu mirimu gyabyo abantu ba bulijjo bafune ensimbi, n’obutale, beegobeko obwavu.

Omuteesiteesi omukulu mu ministry y’eby’obusuubuzi, amakolero n’obwegassi, Geraldine Ssali Busuulwa, agambye nti enteekateeka z’okuzzaawo banka yaabegassi zinaatera okukomekkerezebwa, nti kubanga bebuziizza ku mawanga agatwetoolodde agalina banka zino, nga ekisigadde kuwaayo alipoota eri abakulu abalala, era n’asaba bannansi okubawagira mu nteekateeka eno.
Mu ngeri yeemu, ssaabawandiisi wa Uganda Cooperative Alliance, Ivan Asiimwe, asabye government esuumuse ettendekero ly’ebyobwegassi ery’e Kigumba, liggibwe ku kugaba ebbaluwa ezisookerwako naye ligabe nebbaluwa eziri ku ddaala lya diguli.
Asiimwe agambye nti ettendekero lya Kigumba erye ebyobwegassi lyatandika mu 1963, e Bukalasa mu Bulemeezi nga ligaba ebbaluwa ya certificate nókutuuka kati gwemutendera kwerikyali.
Agambye nti amatendekero agali mu byoobwegassi mu mawanga nga Kenya ne Tanzania gagaba diguli, sso nga wano gali ku certificate na diploma zokka ekiremesezza enkulakulana, n’okumalamu amaanyi abaana abandisomye amasomo gano.
Ku nkola ya parish development model, (PDM), Asiimwe, agambye nti government yandifubye nnyo okweyambisa ebibiina ebiriwo ng’ebiyissamu ssente ezegasa, kuba bbyo byategekebwa dda okusinga okutandikawo ebipya.
Asabye abali mu bibiina bino obutayingiza bya bufuzi mu bya bwegassi naye babireke ku musingi gwe bitandikirako ogwókwekulakulanya,ogwokwagalana, obumu, obwannakyewa olwo bigende mu maaso.
Emma Mugisha omukungu mu Stanbic Bank agambye nti mu kiseera kino nga bank bongedde okukolegana nébibiina byóbusuubuzi okwongera okubabangula mu nkola zémirimu ezikwata ku byénsimbi.
Ebibiina byóbwegassi ebyenjawulo ne bank byetabye ku mukolo guno okuli Stanbic bank, Uganda coorperatives alliance, Kyadondo CBS pewosa Sacco, Myoga sacco, Muhame financial services, néndala nnyingi.