
Abalamuzi 85 balayiziddwa ku kkooti enkulu mu Kampala, nga bano bebabadde bakalondebwa akakiiko akakola ku nsonga z’abalamuzi aka Judicial service commission.
Ku balayiziddwa kuliko abamyuka babawandiisi ba kkooti, abatwala kkooti ento (chief magistrates) nabalamuzi ab’eddaala erisooka aba kkooti ento.
Akulira abawandiisi ba kkooti Sarah Langa asinzidde ku mukolo guno oguyindidde ku kkooti enkulu mu Kampala, nakuutira abalamuzi abalayiziddwa okukuuma erinnya ly’ekitongole ekiramuzi nga bakola obuteebalira n’okwewala okulya enguzi.

Abalamuzi abalayiziddwa bakutandikira okukakkalabya emirimu, okukendeeza emisango egyetuumye mu kooti ng’egisinga gitutte ebbanga nga tegiwulirwa.
Omukolo gwokulayiza abalamuzi abaggya abagenda okuyambako okukendeeza ku misango gino, gukulembeddwamu Sabalamuzi Alphonse Owinyi Dollo.
Bisakiddwa: Mpagi Reccoboam