Okugaba omusaayi kutongozeddwa mu ssaza lye Mawogola, nga yakumala ennaku 5 ng’ewomeddwamu omutwe ekitongole kya Kabaka Foundation.
Enteekateeka eno etongozeddwa omubaka wa Paapa mu ggwanga lya Belgium Ssabasumba Augustine Kasujja.
Mungeri yemu ono yebazizanyo Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll okusiima n’ateekawo enteekateeka eno egendereddwamu okutaasa obulamu bw’aantu.
Okugaba omusaayi kuddamu olunaku olwenkya olwa Tuesday mu Gombolola ya Ssabawaali Mijwala.
Bisakiddwa: Nakato Janefer