Obwakabaka bwa Buganda butongozza wiiki ya Bulungibwansi, yakutambulira ku mulamwa ogugamba nti Tunyweze enkola ya Bulungi bwansi okukuuma Obutondebwensi.
Wiiki eno etambulira wamu n’enteekateeka y’ookukuza olunaku lwa government ez’ebitundu mu Buganda.

Omumyuka owokubiri owa Katikkiro Owek Dr Prof Haji Twaha Kawasse Kigongo yatongozza enteekateeka eno ku ssomero lya SDA primary school Kireka.
Owek.Kawaase agambye nti enkola eya Bulungibwansi yakubbulula Buganda ne Uganda muddubi ,ng’etumbula ebyenjigiriza ,Ebyobulamu ,Ebyentambula, obutondebwensi n’ebirala .
Oweek mungeri yemu asabye abantu okukomya engombo eya government ‘etuyambe’ wabula bettanire Bulungibwansi okubeerako enkulakulana gyebateeka mu bitundu byabwe.
Omukolo guno gwetabyeko Ssabawolereza wobwa Kabaka era Minister wa government ez’ebitundu Owek Christopher Bwanika, ne minister wa Bulungibwansi,Ettaka n’obulimi Owek Mariam Mayanja Nkalubo.
David Sserwawudde akulira akakiiko akakwanaganya Buganda ne Rotary mu gwanga asinzidde ku mukolo guno, nateegeze nti bagenda kukunga banna Rotary bonna mugwanga okunyikiza enkola eyokukola Bulunngi bwansi ,era nga bakuteeka amaanyi mu kisimba ekibira kya Kabaka mu buli kitundu gyebali, nga basimba emiti gi nansangwa n’egyebibala.
Olunaku lwa bulungi bwansi ne government ez’ebitundu lwakukuzibwa nga 08 October,2022 mu ssaza Kyaggwe, era nga lino ly’essaza eryasinga ganaago okutambuza obulungi emirimu mu mwaka guno 2022.
Bisakiddwa: Nakato Janefer