
Obwakabaka bwa Buganda bunyoleddwa wamu n’abantu ba Bungereza olw’okufiirwa Nnaabakyala Elizabeth II abadde omukulembeze wabwe mu nnono.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ku lwa Buganda, agambye nti Nnaabakyala Elizabeth II mu myaka 70 gyakulemberedde Bungereza, nti yategeera bulungi obuvunaanyizibwa obugendera ku kifo ky’abaddemu nti era afubye nnyo okubutuukiriza.
Katikkiro Mayiga, abadde mu lukungaana lwa bannamawulire ku mbuga enkulu ey’Obwakabaka mu Bulange e Mengo.
Agambye nti Nnaabakyala Elizabeth II ng’omukulembeze ow’okuntikko ow’amawanga agagwa mu ttuluba lya Common Wealth, abadde amanyi bulungi okutema empenda z’okuvvuunuka ebisoomoozo ebidde bigwawo mu buvunaanyizibwa bw’ekifo kyabaddemu.
Agambye nti Nnaabakyala Elizabeth II yeewaddeyo nnyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe awatali kwelowoozaako ng’omuntu ssekinnoomu.
Obwakabaka bwa Buganda busaasidde nnyo ab’olulyo Nnaabakyala mwava, abantu ba Bungereza n’amatwale gaayo naddala abo ababadde bamutwala ng’omukulembeze w’amawanga gabwe.
Katikkiro ayozaayozezza King Charles III azze mu bigere bya Nnaabakyala Elizabeth II n’amwagaliza obukulembeze obulungi.
Nnaabakyala wa Bungereza Elizabeth II yafudde eggulo nga 8 September 2022 era amawulire g’okufa kwe gaalangiriddwa mu butongole King Charles yennyini nti nnyina yafiiridde mu lubiri lwe, mu lubiri lwe Balmoral mu Scotland
Queen Elizabeth yafiiridde ku myaka 96 egy’obukulu ng’akulembedde Bungereza emyaka 70.
Olwaleero King Charles asuubirwa okukulemberamu enjole ya nnyina ejjibwe e Scotland gyeyafiiridde etwalibwe mu lubiri lwe Buckingham ewanakolerwa emikolo gyonna egy’okukungubaga n’okumuziika.
Abakulembeze b’amawanga ag’enjawulo n’abantu sekinnoomu baaweerezza dda obubaka obusaasira Abangereza nga n’obulala bukyayiika nga mazzi.
Bya: Kamulegeya Achileo K