Olutalo lubaluseewo buto mu basuubuzi bómuceere ku nsalo ya Uganda ne Tanzania e Mutukula.
Olutalo luno luvudde ku bakulira ekibiina kya basuubuzi bómuceere ekya Rice Agro-Business Foundation okugyemera ekiragiro kya kakiiko ka Parliament akavunayizibwa ku byóbusuubuzi okuyimiriza emirimu gyabwe nóbutaddayo kusolooza nsimbi yonna kubasuubuzi bannabwe.
Akakiiko ka Parliament akalondoola eby’obusuubuzi nga kakulembeddwamu Sentebe wabwe Mwine Mpaka kalagidde government mu bwangu okusazaamu olukusa olwaweebwa ekibiina ekyo okusolooza ensimbi emitwalo 180,000/= ku buli Tanni ya Muceere oguva e Tanzania, ng’ensimbi zino zaazuulibwa nga teziri mu mateeka.
Akakiiko kano era kaakizudde nti waliwo enkolagana wakati wa bakungu mu kitongole kya URA,Clearing Agents , ebitongole eby’okwerinda saako abakulembera ekibiina kya RADFO okunyaga ku bannabwe ensimbi endala 30,000/= zebagamba nti ziddukanya emirimu mu kibiina kyokka nga zakimpatiira.
Abamu kubasuubuzi bómuceere bategezezza CBS nti bakagibwako ensimbi ezisoba mu buwumbi 17 mu bbanga lya myezi 2 gyokka kyokka nga tebalaba gyezigenda.
Wabula abasuubuzi abegattira mu kibiina kya RADFO nga bakulembedwa ssabawandiisi we kibiina kino Moses Ssekandi, bategezezza nti sibakuwaayo buyinza obwabaweebwa kubanga akakiiko ka Parliament tekaatutte budde kwekennenya nsonga zaabwe,wabula kaagoberedde biri mu ngambo.