
Police e Buwama mu district ye Mpigi ng’eyambibwako amagye eri ku muyiggo gw’abasajja babiri abaagezezzaako okukwakkula emmundu ku baserikale ba police y’ebyobulambuzi.
Abanoonyezebwa bano kigambibwa nti baalabiddwako ku ssande ewedde nga bakutte ejjambiya, kyokka olwalabye abaserikale kweekugezaako okubagyako mmundu.
Otim Laurance ne Nkolo Paul nga baweereza mu police y’ebyobulambuzi bebatuusiddwaako ebisago wabula neberwanako.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agambye nti omuyiggo gwabasajja bano gukyagenda mu maaso, okuzuula oba balina akakwaate ku bumu ku bubinja bw’abayeekera.
Obulumbaganyi bwe Buwama webugidde nga wakati wiiki emu ng’abasirikale ba police abaali bakuuma ku ”checkpoint” ya police ku kyalo Kiwumpa, mu muluka gwe Kiwumpa , mu gombolola ye Luwero era mu district ye Luwero bumbiddwa abazigu nebakuuliita n’emmundu bbiri.
Kigambibwa abasajja baali babiri nebefuula abalina kyebebuuza ku basirikale abaali mu kifo ekyo, nekyaddiridde kutandika kutematema abasirikale abaalina emmundu nebazibaggyako nebadduka
Omusikale omu yafiirawo olw’ebisago by’ebiso ebyamutuusibwa ate munne naddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.