Obulabirizi bw’e Mukono bujaguzza okuweza emyaka 38 bukyanga butandikibwawo.
Emikolo giyinda ku kitebe ky’obulabirizi e Mukono nga gitandise na kusaba okukulembeddwamu omulabirizi James Williams Ssebaggala.
Okusaba kuno okutegekeddwa mu Synod hall ku lutikko e Mukono, kwetabiddwako abamu ku baaaliko abalabirizi bobulabirizi buno okuli Rt.Rev. Prof. Michael Ssennyimba ne Bishop Paul Luzinda.
Omulabirizi Ssebaggala nga ye wokuna bukyanga bulabirizi buno butandikibwawo yebazizza bonna abaateeka etoffaali ku ntandikwa y’obulabirizi buno.
Ku mukolo guno era kwekugguliddwawo ekizimbe kya Pension house, ekyagendererwa okuvaamu ensimbi ezisobola okuyamba abaweereza b’eddiini abawummula.
Bisakiddwa: Prossy Nalugo