Obukadde bwa shilling za Uganda 138 bwebwasondebwa mu ky’eggulo kya Kaliisoliiso Dinner 2022.
Ekyeggulo kino kyali kyakusonderako nsimbi okuzimba ekifo awajjanjabibwa abantu abagudde ku bubenje kiri ku ddwaliro lye Nkozi mu ssaza Mawokota.
Katikkiro Charles Peter Mayiga akwasizza abaddukanya eddwaliro ly’e Nkozi Cheque y’ensimbi ya bukadde 138 ku nteekateeka y’okumaliriza ekifo ekyo.
Katikkiro asiimye banna Rotary abaawoma omutwe mu nteekateeka eno, era n’asaba government okusoosoowaza obuweereza obugasiza awamu abantu.
Katikkiro asabye abagoba b’ebidduka okwewala okuvuga endiima n’okujjumbira okwekebejja ebidduka byabwe (Service).

Katikkiro ayagala obupande bw’oku nguudo buzzibwe mu nnimi abantu zebategeera kikendeeze ku bubenje.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era nga ye ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka ekyeggulo kya Kalisoliiso Owek Past District Govnor Robert Wagwa Nsibirwa , ategeezezza nti ekigendererwa kyabwe kwekutaasa abantu abetaaga obuyambi, abaabuli kika awatali kusosola mu byobufuzi, amawanga yadde eddiini.
Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe agambye nti bino byebimu ku bigendererwa Ssaabasajja kweyasinziira okutandakwo CBS, ng’okola ebintu ebiganyula abantu neyebaza bannamikago ababayambyeko okuggusa enteekateeka eno.
Mrsg. Charles Kasibante akiikiridde Ssaabasumba Paul Ssemogerere yeeyanzizza Ssaabasajja eyatandikawo CBS eyambye nnyo mu nteekateeka z’okudduukira abantu be naddala mu nsonga z’ebyobulamu.
Asabye government eyawakati okukwasizaako eddwaliro ly’
e Nkozi omulimu guno guggwe, abantu bawone okufiira mu bubenje ekyeyonoonero.
Hajji Abby Mukiibi Nkaaga omu ku baweereza ba Kaliisoliiso program yeebazizza ababayambyeko okuggusa enteekateeka eno.m nabasaba obutakoowa singa baddamu okubatuukirira.

Abaweereza ba program Kalisoliiso eweerezebwa okuva Monday okutuuka ku Friday ku Cbs 88.8 ku ssaawa 7:30am – 8: 00am okuli akulira ebiweerezebwa ku mpewo Haji Abbey Mukiibi ne Abbu Kawenja beebaziddwa ak’ensusso olwobuweereza obulungi eri abantu ba Ssaabasajja.#