OBUBAKA BWA KATIKKIRO CHARLES PETER MAYIGA OBUGGULAWO OMWAKA 2022

Katikkiro Charles Peter Mayiga

Obubaka bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga obw’omwaka

Mbalamusizza mwenna. Mbebaza bye mukoze mu 2021. Omwaka guno gubaddemu ebisomooza eby’okulonda, abantu baasibwa; endwadde ya Lumiima Mawuggwe; obwavu; ebbula ly’emirimo; abaana obutasoma.

Kyokka twebaza mwenna abekuumye n’essuubi wakati mu bizibu ebingi naddala okukuuma abaana nebatatambula. Abalimye emmwanyi n’amatooke n’abalunze mwebale nnyo.

Njagala okwebaza obuwagizi bwonna bwe muwadde eri emirimo gy’Obwakabaka ate n’okuwuliriza Obubaka Ssaabasajja Kabaka bw’azze atuwa entakera. Mwebale okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka era mwongere bwe mutyo.

Waliwo bingi bye twetwaga okukola mu 2022. Mwekuumire ku Kabaka wammwe. Twegemese Lumiima Mawuggwe. Eddagala teritta era terigaana kuzaala. Tugoberere ebitugambibwa abasawo ng’okunaaba mu ngalo n’okwewala emikolo egisoboka okwewalirwa. Tulye ebibala, enva endiirwa ate tukole dduyiro. Twewale mukenenya ate abalina obulwadde mugendere ku nambika y’abasawo.

Abazadde twefiirize buli kimu okuzza abaana mu masomero. Abawala abafunye embuto beetaaga kubudaabudibwa abaana bano badde musomero ng’amasomero gaggudwawo.

Tukuume ettaka lyaffe mu 2022. Tulikozese. Tulime emmwanyi, tulunde ne bweriba ttono litya.

Twettanire nnyo enteekateeka z’Obwakabaka mu 2022 tutambulire ku nnambika eva e Mengo tuleme kukkiriza mweyogereze kutusuuza kayanzi kaffe.

Tusaba gavumenti eya wakati ekole enteekateeka abantu basobole okuddamu okukola emirimo gyaabwe wadde nga Lumiima Mawuggwe waali.

Emisolo egiwoozebwa gyitunulwemu naddala ku nsonga z’ettaka. Enkola empya ey’emisolo ereme kutiisa bantu butakyuusa ttaka kudda mu mannya gaabwe.

Gavumenti esaana erwanyise enguzi n’amaanyi.

Tusaba gavumenti eyimbule abasibe b’ebyobufuzi, emalewo obukenke. Abakuuma ddembe basse ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu ate erwanyise obumenyi bw’amateeka obwa buli ngeri. Poliisi eyongerwe amaanyi mu kunoonyereza.

Twewale okonaganya amawanga nga ebitugatta bye bisinga obungi.