
Ebibiina by’obufuzi ku ludda oluvuganya government okuli NUP, FDC, JEEMA ne PPP bitadde omukono ku ndagaano okukolera awamu, nekigendererwa eky’okukyusa obukulembeze bwe ggwanga mu mirembe.
Abakulembeze b’ebibiina bino n’ebisinde batudde ku Hotel African mu Kampala nebakkaanya ku nteekateeka eno.
Ebimu ku bikanyiziddwako, nti bwewabaawo ensonga y’okwekalakaasa mu mirembe ebibiina byonna byakukoleranga wamu,nga nebwekaba kalulu balina okutambula bonna balwanirire obuwanguzi bw’oludda oluvuganaya.
Mu nsisnkano eno omukulembeze w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu alabudde banne ku ludda oluvuganya nti baveemu enkwe, bakolere wamu bwebababa bakuleeta enkyukakyuuka
Kyagulanyi agambye nti n’entalo z’ebibiina by’obufuzi zirina okuteekebwa ebbali bakolerere wamu.
Omukulembeze w’ekisinde kyebyobufuzi ekya Peoples Front For Transition Col Kizza Besigye agambye nti ekyabaletedde okusalawo okukolera awamu yevulugu ali mu kulonda kwa Uganda.
Besigye agambye nti kati okulonda kwafuuse kw’amagye na Police.
Omukulembeze w’ekibiina kya Jeema Asuman Basaalirwa agambye nti enteekateeka yonna ey’okukyusa obukulembeze bwe ggwanga lino bagenda kujenyigiramu ng’ekibiina, nga agamba nti banansi babonyebonye ekimala.
Amyuka omukulembeze wa FDC mu Buganda era lord mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago naye asabye ebibiina ebivuganya government bive mukuvumagana, wabula amaanyi bagateeke mu bikyusa eggwanga.
Omukulembeze w’ekibiina kya PPP Sadam Gayira ategezezza bakulembeze banne ku ludda oluvuganya nti ku mulundi guno, bave mu bigambo bakole enkolagana ey’omubikolwa era evaamu ebibala.
Ate ye akulira oludda oluvuganya government mu parliament Owek Mathius Mpuuga Nsamba alabudde ababaka bakulembera mu Parliament obutagezaako kwesulubaba nsonga zakuleeta nkyukakyuuka mu ggwanga, nga bagenderera okutuukiriza ebigendererwa byabwe ng’abantu.
Ebibiina bino NUP, FDC, JEEMA ne PPP webiviiriddeyo okukola endagaano, nga DP nayo yakakola endagaano n’ekibiina ekiri mu buyinza okukolera awamu.
Era ng’ebimu ku bibala ebyakava mu ndagaano, president wa DP Nobert Mao yaweereddwa ekifo kya minister wa ssemateeka n’essiga eddamuzi, era nga waliwo ne bannaDP abalala bana balindiridde.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge