
Ekibiina Kya National Unity Platform (NUP) kiguze ettaka era nekitongoza ekifo wekigenda okuzimba ekitebe ekitongole eky’ekibiina kino.
Ekitebe kya NUP kigenda kuzimbibwa mj bitundu bye Kavule Makerere mu muluka gwe Bwaise mu Kawempe division.
Okuva ekisinde kya People Power lwekyatandika mu 2018, president waakyo era president wa NUP Robert Kyagulanyi Ssenyamu yawaayo ekimu ku buzimbe bye e Kamwokya okukakkalabizaamu emirimu gy’ekibiina.
NUP bweyatongozebwa mu 2020 ng’ekibiina, zasigala zikozesebwa nga wofiisi z’ekibiina.
President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu agambye nti kino ekikoleddwa eky’okufunira ekibiina ekitebe ekitongole, kabonero akalaga nti NUP weeri ya bannauganda bonna, era terina gyeraga.
Mu ngeri yeemu Kyagulanyi agambye nti ekitebe kino babadde basobola ókukiteeka mu bitundu bye Kololo nti naye mu Ghetto bakyalina omulimu gwókujisitula ,nabawangaalirayo beyagalire munsi yabwe ng’abalala.

Akulira oludda oluganya government mu Parliament Mathius Mpuuga Nsamba agambye nti, ensimbi eziguze ettaka ly’ekibiina zivudde mu bakulembeze ba NUP abaalondebwa mu bifo ebyenjawulo, okuli ababaka ba parliament ne government ez’ebitundu nga buli mwezi baliko omutemwa gwebasasulayo okuzimba ekibiina.
Agambye nti oluvannyuma lw’okuzimba ekitebe ky’ekibiina, bakuzaako okuzimba wofiisi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Lubongoya agambye nti wofiisi z’e Kamwokya zakugira zisigalawo, zikozesebwe okutendekerwayo abakulembeze ba NUP n’emirimu emirala egy’ekibiina.