Parliament ya Uganda leero eronze ababaka 9 abagenda okukiikirira eggwanga mu parliament y’omukago gwa East Africa( East African Legislative Assembly EALA).
Ababaka 478 bebetabye mu kalulu kano ku babaka 529 ababadde balina okulonda, era nga banna kibiina kya NRM bebasinze okuwangulira waggulu mu kulonda kuno.
Ku bano omukaaga abayiseemu ku ticket ya NRM Rose Akol Okullo afunye obululu 422, nga yakulembedde ababadde mu lwokaano, James Kakooza 405, Odongo Steven 403, Musamali Paul 401, Mugyenyi Mary 367.
Ababala abayiseemu ye Veronica Kadogo 383, Amongin Jacklin 330, songa munna DP Gerald Siranda Blacks afunye obululu 233, nga balangiriddwa speaker Anita Among.
Abantu 3 abapya bebegasse ku parliament ya EALA okuli Veronica babirye Kadogo, Jacqueline Amongin ne Gerald Siranda owa Democratic Party.

Mu bamu ku babadde mu lwokaano abatasobodde kuyitamu kuliko munna UPC Fred Ebil, munna FDC Harold Kaija, munna JEEMA Muhammad Kateregga, munnamawulire Julius Bukyana, Dr Dennis Kapyata, Daniel Muwonge, Stella Kiryowa, Phiona Rwandarugali nabalala.
Speaker wa parliament Anita Among oluvanyuma lwokulangirira abayiseemu, alagidde clerk wa parliament okuwaayo amannya gabawanguzi eri ssabawandiisi wa EALA olunaku olwe nkya.
Wabula speaker Anita Among alabudde ababaka okulekeraawo okweyisa mu ngeri etaja mu kitiibwa kyabwe, oluvanyuma lwomubaka wa Aringa North Alioni Odria okukuba omu ku basirikale ba police abakuuma parliament.
Embeera eno evudde ku babaka abamu okwekengera ntibwandiba nga wabaddewo okubba akalulu, oluvannyuma lw’okusanga nga mu bubokisi obumu mulimu obululu, so ng’okulonda kubadde tekunatandika mu butongole.
Wabula oluvannyuma kitegeezeddwa nti waliwo ababaka abaasabye sipiika n’abakkiriza okusuula akalulu, nti kubanga babadde balina emirimu emirala emitongole gyebagendako egibadde tegibasobozesa kulinda kiseera kyakulonda.
Obululu bw’abantu abalala abavuganyizza mu kulonda kuno.
Agaba Gilbert (210); Ategeka Moses (4); Bukyana Julius (8); Bwengye Lauben Muhangi (5) Kapyata Dennis (9); Kiryowa Stella (27); Lolem Josephine Independents: Agaba Gilbert (210); Ategeka Moses (4); Bukyana Julius (8); Bwengye Lauben Muhangi (5) Kapyata Dennis (9); Kiryowa Stella (27); Lolem Josephine (11); Kisembo Ronex Tendo (6); Luyinda Fred (5); Murangira Ambrose (181); Muwonge Mugwanya Daniel (4)(11); Kisembo Ronex Tendo (6); Luyinda Fred (5); Murangira Ambrose (181); Muwonge Mugwanya Daniel (4)
Muyinda Allan Stanely (4); Naamara Patience Tumwesigye (35); Nakitende Salaama Adelaide (6); Rwandarugali Phiona (23); Tindyebwa Joseph (22)
Obululu obufudde bubadde 11.