Akulira eby’okulonda mu Soroti Ayu Christine alangiridde Herbert Edmund Ariko ng’omubaka wa Soroti East omuggya.
Ariko awangudde munnaFDC Moses Attan bwebabadde ku mbiranye, Pascal Amuriat owa UPC.
Ariko afunye obululu 9407, Attan 8771, Amuriat 115.
Akulira eby’okulonda alangiridde Ariko ng’omubaka wa Soroti East,oluvannyuma lw’okuddamu okukuba akalulu mu kitundu ekyo.

Munna FDC Moses Attan asambazze ebirangiriddwa, naagamba nti akalulu tekabadde k’amazima na bwenkanya nti kubanga kabaddemu okubbira kungi.
Yemulugunyizza olw’abawagizi be abaakwatiddwa ab’ebyokwerinda, nebigambibwa nti waliwo obululu obwasangiddwa nga bwawedde dda okugololwa.
Attan agambye nti agenda kusooka kwebuuza ku bannakibiina kye aba FDC basalewo ekiddako.
Kooti yasazaamu obuwanguzi bwa Attan ng’egamba nti waaliwo ensobi ezaakolebwa akakiiko k’ebyokulonda mu kitundu ekyo.
Waliwo ebifo bisatu ebirondebwamu ebigambibwa nti tebyali byakitundu kya Soroti East, era obululu bwabyo bwagattibwa mu bw’ekitundu ekyo mu butamwa.
Wabula mu butongole ebifo ebyo mu kalulu kookuddamu okulonda okubaddeyo,ebifo ebyo byagatiddwa ku Soroti East era abalonderayo bakubye akalulu.