
President Yoweri Kaguta Museveni era ssentebe w’ekibiina kya NRM akoze endagaano ne president wa Democtractic Party Norbert Mao okukolera awamu okutwala mu maaso ebiruubirirwa by’ebibiina byebakulembera.
Endagaano eno bagikoledde mu maka goobwa president Entebbe, wadde nga byonna ebirambikiddwa mu ndagaano eno tebinamanyibwa mu bujjuvu.
President wa DP Norbert Mao awerekeddwako Saabawandiisi we kibina kya DP Gerald Siranda.
President Museveni azeemu okukikaatiriza nti Dp ebadde tekyalina lugendo lwonna, okuggyako ng’ekoledde wamu n’ekibiina kya NRM.
President Museven asiimye president wa DP nti olw’okuzannya ebyobufuzi ebyakisajja kikulu.
Agambye nti kyebalina okusookerako kwekukolera awamu okuzimba eggwanga n’okutumbula democracy.
Norbert Mao asiimye president Museveni nti mukulembeze wanjawulo, era agambye nti endagano gyebataddeko omukono bombi, yakwongera okukyusa engeri ebyobufuzi gyebikolebwamu mu Uganda.
Mao mungeri yemu agamba nti ekibiina kya DP kyakukolagana bulungi ne president Museveni nti kubanga mukulembeze wanjawulo gwayise kaputaeeni w’ebyobufuzi mu ggwanga lino.
Kinajukirwa nti ekiseera kinene abamu ku bakulembeze ba DP bazze balumiriza omukulembeze wabwe okukolagana ne NRM okutunda ekibiina kyabwe.
Embeera eno yaviirako n’abakulembeze abamaanyi mu kibina kino okukyabulira.
Sso nga ne mu kulonda kw’ababaka ba EALA NRM yakyogedde mulwatu, nti egenda kuwagira ekibiina kya DP ne UPC mu kulonda okusuubirwa okubaawo omwezi ogujja ogwa August 2022.