
President wa DP Nobert Mao alayiziddwa nga minister omuggya owa ssemateeka n’essiga eddamuzi, neyeyama okuweereza bannauganda ng’akolera wamu ne government ekulemberwa NRM.
Mao ebirayiro abikubidde mu maka goobwapresident Entebbe.
Minister omubeezi avunayizibwa ku kulondoola ebyenfuna mu gwanga Akello Beatrice Akori naye alayiziddwa.
President w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni awabudde abakulembeze abali ku ludda oluvuganya government, nti okukoppa president wa DP Nobert Mao begatte ku government ye okukulakulanya banna Uganda okusinga okukulembeza enjawukana.

President Museven agambye nti enteekateeka zabwe ne Minister Nobert Mao ez’okuweereza banna Uganda zaava dda, wabula zibadde zibulako kiseera buseera okussibwa mu nkola.
Gyebuvuddeko president wa DP Nobert Mao yakoze endagaano ekkiriza ekibiina kya DP okukolera awamu n’ekibiina kya NRM.
Kigambibwa nti mu nzikiriziganya eno, Museven yasuubizza DP okugiwa ebifo bitaano mu government n’obuweereza obulala.
Mao amaze okulayira nga minister omuggya, abalala ye Ssaabawandiisi wa DP Gerald Ssiranda NRM gweyasuubizza okuwagira agende akiikirire Uganda mu parliament ya East African Legslative Assembly ( EALA) n’abalala basatu kigambibwa nti bebalindiridde okugonnomolebwako ebifo.