Obwakabaka bwa Buganda mu butongole bwanjuliddwa Nnalulungi w’ebyobulambuzi owa Buganda, era Nnalululungi w’ebyobulambuzi owa Uganda yonna owa 2022, muzzukulu wa Muteesaasira omuzirango, Sydney Nabulya Kavuma.
Nnalulungi Sydney Nabulya Kavuma ayanjuddwa ssenkulu w’ekitongole kya Buganda eky’ebyobulambuzi ekya Buganda Heritage and Tourism Board Omuk. Victoria Kayaga, amwanjulidde Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mmengo.
Katikkiro Charles Peter Mayiga, ayozaayozezza Sydney Nabulya olw’okusitukira mu ngule y’obwannalulungi obwa Buganda ate ne Uganda yonna okutwalira awamu, n’amusaba okukuuma ekitiibwa ekyo.
Sydney Nabulya abadde nebanne abaamuddirira mu kya Buganda okuli Omulongo Nakato Namuyanja Rosalinda eyakwata eky’okubiri (1ST Runners Up) ne Namakula Allen eyakwata eky’okusatu (2nd Runners up).
Mu nsisinkano yeemu mubaddemu ne ba Nnalulungi by’ebyobulambuzi okuva e Kalamojja-Nakali Genevieve ne West Nile-Ayona Desire Petience.
Katikkiro abasabye okukwanaganya obulungi bwabwe obw’okumaaso n’obwokumutima wamu n’obwongo basse ensi yaabwe n’eggwanga lyabwe ku map y’ensi yonna.
“Omuntu nga mulungi nnyo, naye nga wattima, n’obulungi bwe bufa, okuba n’obulungi obw’omumaaso naye ng’obwongo bunafu, oba walungiyira bwereere” Katikkiro Mayiga
Katikkiro ababuuliridde okukuuma enneeyisa yaabwe nga nnungi mu bantu, okwogiwaza obwongo nga basoma nnyo wamu n’okwongera okunoonyereza ku nsonga nnyingi, naabakyasoma banyiikire bamalirize emisomo.
Mu ngeri yeemu abawadde amagezi obutekomomma ku nsonga y’ebyobuwangwa byabwe nga bifeebezebwa abalowooza nti omuntu okusoosowa eby’obuwangwa bwe abeera wawansi.
“Okwagala eby’obuwanga bwo tekikufuula wawansi”
Nnalulungi w’ebyobulambuzi Sydney Nabulya Kavuma yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja olw’enteekateeka eno naye mwafunidde omukisa okulabikako ku mwanjo mu Buganda, ne Uganda.
Songa kati yayitiddwa okwetaba ne mu mpaka za Nnalulungi w’ebyobulambuzi ow’ensi yonna (Miss Tourism International) ezigenda okuyindira e Malaysia omwezi ogujja ogwa Museenene ( November) 2022.

Nnabulya yeeyamye mu maaso ga Katikkiro okukuuma enkolagana ennungi n’Obwakabaka ng’ayita mu kitongole ky’ebyobulambuzi, okutumbula eby’obulambuzi, obuwangwa n’ennono za Buganda.
Omukwanaganya w’empaka za Nnalulungi w’ebyobulambuzi wa Uganda, Maria Mutagamba yeebazizza Obwakabaka olw’okukkiriza okukolagana nabo, neyeeyama nti obwasseruganda buno bakubukuuma batumbule eby’obulambuzi bya Buganda ne Uganda yonna.
Ssentebe wa Bboodi y’ebyobulambuzi mu Buganda Omuk. Benon Ntambi ategeezezza Katikkiro nti balina enteekateeka ey’omuggundu gyebaabaga, gyebaagala okutuukiriza bwatyo n’amusaba abayambeko abanoonyeze ku bannamikago bebasobola okukolagana nabo, okutwala mu maaso eby’obulambuzi.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo.K