Nnaabagereka Sylvia Nagginda atongozza Ekisaakaate Gatonnya 2023, ekigenda okubumbujjira ku ssomero lya Muzza High School Kabembe Mukono mu ssaza Kyaggwe.
Ekisakaate kya Nnabagereka 2023 gatonnya kiritandika nga 5 January, 2023 okutuuka nga 21 January, 2023.
Ekisaakaate 2023 kyakutambulizibwa ku mulamwa ogugamba nti ‘Okuttukiza Obusobozi Obukusike ku lw’Okwekulaakulanya’.
Ekisaakaate kino kitongozeddwa mu Bulange e Mengo.
Mu bubakabwe obusomeddwa minister w’ebyenjigiriza n’ebyobulamu Owek Dr Prosperus Nankindu Kavuma nga yavunaanyizibwa ku wofiisi ya Nnabagereka ,Nnabagereka asabye abazadde okuyambako abaana okuzuula obusobozi bwabwe.
Nnabagereka yeebazizza abazadde abazze baleeta abaana mu Kisaakaate okuva lwekyatandika, wamu naabo abateeseteese okuleeta abaana omwaka ogujja.

Omuk. Wilson Mukiibi Muzzanganda nga yemutandisi w’Essomero lya Muzza High School, yeeyanzizza Beene okusiima naamuwa obuvunaanyizibwa okuteekateeka ekisaakaate 2023.

Nnaabagunjuzi w’ekisakaate kya Nnaabagereka Joanita Kawalya ne Ssaabagunjuzi Lukwago Rashid bagambye nti beetegefu okwongera okulambika abaana ba Buganda ne Uganda yonna okutwalira awamu.
Ekisakaate kya Nnaabagereka 2023 Gatonnya kiwagiddwa DFCU bank ne Nnabagereka Development Foundation.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: Musa Kirumira