
Police mu Kampala ngeri wamu n’ekitongole ekivunanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority, (NDA), bakutte abantu 6 ku bigambibwa nti babadde baguza abantu eddagala effu.
Abakwate basangiddwa mu Container village era basangiddwa n’eddagala eddala erya government erisoba mu doozi emitwalo ebiri (20,000).
Eddagala erisinze okuboyebwa kuliko erifuuyira kalusu mu nsolo, nga libalirirwamu obukadde bwa siringisi 100.

Eddagala lya kalusu, government yokka yeerina olukusa okulitunda mu ggwanga okuyita mu ministry y’eby’obulimi, era abakungu ba government abakulira ebyobulimi ku district bebaba balivunanyizibwako.

Abiaz Rwamwiri ayogerera ekitongole kya National Drug Authority, (NDA), agamba nti abakwate baakuvunanibwa okubeera n’ebintu bya government mu bumenyi bw’amaateeka n’okutunda eddagala effu ku katale.
Eddagala lya government erya kalusu lirina okuwebwa abalimi ku bwereere, wabula kitegerekese nti buli kicupa babadde bakitunda shs emitwalo 300,000/=.
Ayogerera police ya Kampala nemiriaano, Luke Oweyesigire, agambye nti abakwate bakyakuumirwa ku police ya CPS ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.