
Nabulya Sydney Kavuma muzzukulu wa Muteesaasira, ava mu Ssaza Kyadondo yanywedde mu banne akendo, natikkirwa ku bwa Nalulungi wa Buganda ow’ebyobulambuzi 2022.
Bannalulungi 18 bebaasunsulwa okuva mu masaza ga Buganda gonna 18, era bamaze wiiki ssatu nga basomesebwa n`okulambuzibwa obwakabaka ne Uganda yonna okutwaliza awamu.
Mmzukulu wa Mbaziira Namuyanja Nakato Rose Lyn okuva mu Ssaza lye Busiro yakutte ekyokubiri, ate muzukulu wa Ndugwa Namakula Allen Genevieve okuva mu Ssaza Bugerere yamaliidde mu ky`okussatu.
Nassanga Deborah okuva mu ssaza Gomba akutte kyakuna, era y’abadde munnabitone asinze.
Nnaabagereka Sylvia Nagginda nga yatikkidde Miss Buganda Tourism 2022-2023, abawanguzi abasibiridde entanda ey`okunyweza n’okukuuma ennono z`obwaKabaka bwa Buganda.
Nnaabagereka era akubirizza abawala ba Nalulungi okusosowaza ennyingo y’obuntubulamu mu byonna byebakola, bongere okutuuka ku buwanguzi.
Abawala abetabye mu mpaka zino basoose kwolesa ebintu ebyenjawulo omubadde ennyambala, okulanya, okuyimba ebiyiiye ku buwangwa, okwanukula ebibuuzo wamu n’amazina.
Owek Professor Twaha Kigongo Kawaase, akubirizza abavuganyizza nabawangudde okuwanika bendera ya Buganda mu byonna byebakola.

Minister w`Obuwangwa nenono, embiri, amasiro, eby`obulambuzi, eby`okwerinda, olulimi oluganda n`okunonyereza Owek David Kiwalabye Male, atenderezza aba Buganda Heritage and Tourism Board okutegeka empaka ezitukaganye n`omutindo.
Yebazizza banna mukago abakwasirizaako obwakabaka munteekateeka zino.
Victoria Kayaga Kigundu Ssenkulu wa Buganda Herritage and tourism board, ategeezezza nti wabaddewo okusomesa n’okubangula bannalulungi bano ku nsonga za Buganda, n’okubagazisa eby’obulambuzi ebiri mu Buganda ne Uganda yonna, ate nabo bagende babyagazise abalala.