Minister omubeezi avunanyizibwa ku by’amawulire, okulungamya eggwanga ne technology, Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwawo, awadde amagezi eri abaweereza b’ekkanisa, betegekere obukadde bwabwe baleme kutuuka kiseera kiwummuzibwa nga tebalina wakudda.
Minister Owek Ssebugwawo abadde yeetabye ku mukolo gw’eky’eggulo ky’okusiima abamu ku baweereza b’ekkanisa, ogubadde ku Imperial Royale Hotel mu Kampala
Ekyeggulo kino kyategekeddwa aba Clergy Appreciation and Awareness Commission.
Minister Nabbosa agamba nti abawereza b’ekkanisa abamu baviirako abakulisitaayo n’ababagoberera okuswala nga batuuse okuwummuzibwa nga tebalina nawakudda, olwo nebaagala okugaanira mu buwereza.
Mu ngeri yeemu awadde amagezi eri olukiiko oluddukanya emirimu gy’ekkanisa n’abakulisitaayo amagezi okulowooza ku ky’okukyusa akawaayiro k’ekkono ku myaka abamu gyebawummulirako, naagamba nti waliwo ababa bakyalina embavu okukola newankubadde batuuse mu myaka 65 egyokuwummulirako mu mateeka.

Minister w’obwakabaka avunanyizibwa ku bulambuzi, eby’okwerinda, embiri, ennono n’obuwangwa, Owek David Kyewalabye Male, era nga yoomu ku bakulembeze era abateesiteesi ba Clergy Appreciation and Awareness Commission, abagaba engule zokusiima abamu ku bawereza b’ekkanisa abakoze obulungi, agambye nti enkola eno, egendereddemu kuteekateeka baweereza nokubalaga ebyetaaga okusaako essira ssinga bava mu buweereza.
Abantu ab’enjawulo basiimiddwa era nebaweebwa engule ezitali zimu wabula nga ow’enjawulo asiimiddwa leero ye yaliko Omulabirizi we Lango, John Charles Odurkamj, ngono yakulembera obulabirizi buno okuva mu 2001 okutuuka mu 2017.
Ebiseera weyabukulembereramu Lango, waaliyo abayeekera ba Kony bangi nga baatuuka n’okumuteekako kantayi wa ssente eri omuntu eyandibatwalidde omutwegwe.
Kyokka Ono bweyawummula yali yasalawo okugenda mu byobufuzi, wabula ate yaddamu naalondebwa okuba omukuumi w’entebe y’obulabirizi bwe Kitgum, oluvanyuma lw’okusika omuguwa okubalukawo ng’omulabirizi w’e Kitgum afudde.
Bisakiddwa: Ddungu Davis