Police erabudde bannauganda bonna naddala bannyini bibanda bya mupiira wamu n’ebifo awagenda okulagibwa omupiira gw’ekikopo ky’ensi yonna ogw’akamalirizo, babeere begendereza eri obutujju obuyinza okubaawo ssinga ebyokwerinda tebinyweezebwa.
Empaka z’akamalirizo ezeekikopo kyensi yonna za leero ku sunday 18 December,2022, Algentina egenda kuttunka ne France.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti ebyokwerinda bibadde birungi bukyanga empaka zino zitandika, kyokka nategeeza nti ssinga tewabaawo kwekengera nakwerinda kumala ku byobukuumi, eggwanga lyandigwa ku kizibu.
Ku fayinolo za world cup mu mwaaka gwa 2010, abajambula ba Alshabab baatuusa Uganda ku buzibu, bwebaatega bbomu e Lugogo ne Kabalagala mu Kampala abantu mwebaali balabira omupiira, abantu abasoba mu 70 nebafa n’abalala n’okutuusa bakyapooca n’obuvune.
Spain yali ettunka ne Budaaki mu kikopo ekyategekebwa South Africa.
Bisakiddwa: Kato Denis