
Omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes, Mustafah Kiiza, yegasse ku club ya FC Arouca egucangira mu liigi ya babinywera mu Portugal.
Omuzibizi Mustafah Kiiza awaereddwa endagaano ya myaka 3, ng’acangira club eno endiba oluvannyuma lw’ekiseera nga talina club.
Mustafah Kiiza abadde yasemba kuzannyira club ya Montreal ey’omukibinja kya babinywera mu America, era abadde talina club okuva mu December omwaka oguwedde.
Club ya Young Africa nayo ebadde emwegwanyiza, kyokka enteseganya wakati w’omuzannyi ne club zaagwa butaka omwezi oguwedde.
Club gy’agenzemu eya FC Arouca sizoni ewedde yakwata ekifo kya 15, era season ejja eya 2022/2023, Mustafah Kiiza agenda kuvuganya ne club endala ezamannya okuli FC Portal, Benifica, Sporting Lisbon n’endala.
Mustah Kiiza erinnya okusinga yalikolera mu club ya KCCA gye yatandikira omupiira nga mwana muto okutuuka ku ttiimu enkulu, gyeyava okugenda mu America.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe