President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, alagidde abaddukanya amatendekero agaawaggulu mu ggwanga okukomya okukaaba obutaba nansimbi zimala kutambuza mirimu, nabawa amagezi okunoonya bannamukago abanabakwasizaako okutuukiriza byebalina okukola.
Obubaka bwa President Museveni abutisse omumyuka we Rtd Maj Jessica Alupo, ku mukolo ogw’okutuuza ssenkulu wa Kyambogo University omujja Prof. John Yakobo Okedi.
Agambye nti amatendekero tegalina kuyimirirawo ku buvujjirizi bwa government yokka, wabula nago okwetandikirawo emikago ejivaamu ensimbi.
President Museveni era azeemu okujjukiza abaddukanya Kyambogo University okuddayo ku nnono zaayo ezookubangula abayizi abalina obukugu obwetaagisa mu ggwanga, naddala mu masomo ga science, obuyiiya ne Tekinolojiya n’okwongera ku basomesa ba science mu ggwanga.
Ku lulwe omumyuka wa president Rtd Maj Jessica Alupo, asabye abakulembera Kyambogo okwongera okulwanyisa emize egy’obutabanguko, okwekalakaasa kw’abayizi n’basomesa, okwongera okukuuma ekifaananyi kyayo ekirungi mu by’enjigiriza bya Uganda.
Minister w’eby’enjigiriza era mukyala w’omukulembeze w’eggwanga Janet Kataaha Museveni, mu bubaka obumusomeddwa minister omubeezi owebyenjigiriza avunanyizibwa ku matendekero agasookerwako, Dr Joyce Moriku Kaducu, asabye amatendekero agawaggulu okwongera okutumbula ebyokunonyereza n’okusomesa abayizi ebibayamba okufuna emirimu amangu.

Prof. John Yakobo Okedi kati ye chancellor wa Kyambogo University omujja, azze mu bigere bya Prof John Prancas Mukasa Ssebuufu, eyakwata entebbe y’obwa Chancellor wa Kyambogo okuva mu 2014 n’okutuusa olwaleero.
Oluvanyuma lw’okutuuzibwa Prof John Yakobo Okedi, yeweze okwongera okukyusa ekifaananyi kya ssetendekero ono, okutuuka waasanidde okuba, okufulumya abayizi ab’omutindo, era neyeebaza nnyo Prof Ssebuufu gwadidde mu bigere olw’enkyukakyuka zeyateekawo mu University eno.
Amyuka ssenkulu wa Kyambogo University Prof Elly Katunguka Rwakishyaya ne ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa ssetendekero ono, Dr Mary Gorretti Nakabugo, bawanjagiddwa government okwongera obuvujjirizi mu ssetendekero okutuuka ku biruubirirwa byenteekateeka ey’emyaka 5 gyebaayisizza, okwongera okunoonyereza ku bintu ebyenjawulo n’enteekateeka endala nnyingi.
Bisakiddwa: Ddungu Davis