Omuzibizi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, Ronald Mukiibi, ayabulidde club ya Degerfors IF egucangira mu liigi ya babinywera eya Sweden olw’obuvune.
Ronald Mukiibi okwabulira club eno, kivudde ku njuuyi zombi okutuuka ku kukaanya, nti omuzannyi ono abaviire olw’obuvune obumumazeeko ekiseera nga tebuwona.

Mukiibi abadde yegatta ku club eno eya Degerfors IF mu January omwaka guno 2022, kyokka okuva olwo ttiimu eno egizanyidde emipiira 3 gyokka.
Wagendedde nga endagano ye ebadde esigaddeko ebbanga lya mwaka gumu ku myaka 2 egibadde mu ndagaano.
Uganda Cranes yakagizannyira rmipiira 5 okuva mu 2019.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe