President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, ayongezzaayo omuggalo ku district 2 okuli eye Kassanda ne Mubende, okumala ennaku endala 21 nti nga government bweyeetegereza abalwadde ba Ebola mu district ezo.
Mu bubaka bwatisse omunyukawe Rtd Maj Jessica Alupo, president Museveni, agambye nti district ye Mubende ebadde emaze ennaku nga tezuulibwamu mulwadde okutuusa ggyo lyabalamu omusawo omu, bweyasangiddwamu ekirwadde ekyongedde okweralikiriza, nga ne Kassanda embeera yeemu.
President Museveni agambye nti ebiragiro byonna ku muggalo nga bwebyayisibwa bwebirina okugobererwa munnaku zino endala 21 zaayongezaayo.
Alupo annyonyodde nti district ye Mubende ne Kassanda abalwadde bawona kitono ssonga mu Kampala ne district endala 6 okuli Wakiso, Masaka, Jinja, Bunyangabu, Kagadi ne Kyegegwa bakola bulungiko mu kukwanyisa Ebola. #