Emisinde mubunabyalo egya MTN Marathon gisiimbuddwa Ssaabaminister Robinah Nabbanja, ku kisaawe ky’amefuga e Kololo.
Abaddusi betabye mu mbiro za kilometre 5,10,21,ne 42.
Mubaddemu abaana abato, abakyala ab’embuto,abakadde, n’abalala, ng’ejjaabaliko obulemu gyategekebwa wiiki ewedde.
Emisinde gino gigendereddwamu okudduukirira eby’obulamu bw’abaana mu malwaliro agenjawulo omuli Kisenyi Health Centre III, Kawaala Health centre III, e Kabong ne Soroti.
MTN Marathon yatandikibwawo mu mwaka gwa 2004, ng’ekigendererwa kyali kyakudduukirira abakyala ab’embuto abaali mu nkambi z’ababundabuunda, mu bukiika kkono bw’eggwanga.
Emisinde gino gitegekebwa buli mwaka era ng’ensimbi ezivaamu zissibwa mu nteekateeka ez’okutumbula eby’obulamu.#