Ng’ensi yonna eri mu keetereekerero ak’empaka z’omupiira ogw’ebigere ezisinga obuganzi munsi yonna eza FIFA World Cup ezitandika nga 20 omwezi guno e Qatar, Morocco yeemu kunsi 5 ezigenda okukiikirira ssemazinga Africa mu mpaka zino.
Endala kuliko Senegal, Cameroon, Tunisia ne Ghana.
Morocco mu mpaka zino yateekebwa mu kibinja F ne Belgium, Canada ne Croatia, era egenda kuzannya omupiira gwayo ogusooka nga ettunka ne Croatia nga 23 omwezi guno ogwa November mu kisaawe kya Al Bayt Stadium ekisangibwa mu kibuga Al Khor.
Morocco lye ggwanga lya Africa eryali ery’okubiri okukiika mu mpaka za World Cup, nga yakiika mu mpaka za 1970 ezaali e Mexico.
Waali wayise emyaka egisoba mu 30 nga Misiri eyasooka okwetaba mu mpaka zino evuganyizza mu mpaka za 1934 ezaali mu Italy.
Morocco ng’etendekebwa munnansi wabwe Walid Regragui.

Morocco esuubirwa okuyimirira ku bazannyi Hakim Ziyech owa Chelsea eya Bungereza, Youssef En Nesyri owa Sevilla eya Spain, Noussair Mazraoui owa Bayern Munich owa Germany, Achraf Hakim owa PSG eya France, Romain Saiss owa Besiktas eya Turkey nabazannyi abalala.
Morocco yakakiika mu mpaka za World Cup emirundi 6 okuva mu 1970, 1986, 1994, 1998, 2018 n’omwaka guno 2022.
Empaka za World zonna zigenda kuweerezebwa butereevu wano ku Radio y’Omutanda CBSfm ne ku mukutu gwa cbsfm ug official ku Youtube.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe