
Minister omubeezi ow’ettaka avunanyizibwa ku nkulakulana y’ebibuga Persis Namuganza asindiikiddwa mu kakiiko ka parliament akakwasisa empisa kamunonyerezeeko ku bigambibwa nti yavoola parliament.
Ababaka okubadde omubaka omukyala owa district ye Tororo Sarah Opendi ne Henry Moris Kibalya owa Bugabula South balumirizZa minister Namuganza, nti parliament bweyalagira agobwe olwavvulugu gweyenyigiramu ku byókutunda ettaka lye Naggulu, yagenda mu mawulire nágigugumbula nti temulinaako buvunaanyizibwa.
Wabaddewo ababaka ababadde bateekateeka ekiteeso ekigoba minister Persis Namuganza, nti lwebajja okumugolola ettumba
Wabula omubaka wa Kira municipality Ibrahim Ssemujju Nganda abalabudde ku kiteeso kino ,nti parliament ereme kukola bintu ebirabika ngébyóbuliisa maanyi ku bantu, so nga nayo erina ebintu byekola ebyonoonye ekifaananyi kyayo mu bantu.
Amyuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa wano wasinzidde okusindiika minister Namuganza mu kakiiko akakwasisa empisa, era akawadde wiiki bbiiri nga kamalirizza okumunoonyerezaako.
Guno gugenda kubeera mulundi gwakubiri nga minister Persis Namuganza asiindikibwa mu kakiiko kémpisa. Ogwaasooka gwali mu parliament eye 10, ku bigambibwa nti yavuma eyali sipiika Rebecca Alitwala Kadaga.