
Omubaka wa Busiro East era ssentebbe w’akakiiko ka parliament akalondoola ensaasaanya y’ensimbi zoomuwi w’omusolo Owek. Medard Lubega Sseggona, alondeddwa nga ssentebe wabassentebe boobukiiko bwa parliament z’amawanga ga Africa obulondoola ensaasaanya y’ensimbi zoomuwi womusolo (AFROPAC).
Owek Medard Lubega Ssegona alondeddwa mu ttabamiruka wa bassentebe boobukiiko bwa parliament obulondoola ensaasaanya y’ensimbi zomuwi womusolo, atudde mu kibuga Monrovia mu Liberia
Ba ssentebbe bobukiiko buno bava mu mawanga gonna ku ssemazinga wa Africa, nga begattira mu mukago gwaabwe gu African Organisation for Public Accounts committees.
Ttabamiruka womukago guno gu African Organisation for Public Accounts Committees ye w’omulundi ogwokuna, okuva omukago guno lwegwatandikibwawo.
Ow’omulundi guno atambulidde ku mulamwa ogugamba nti “Collect Comprehensively, Borrow Wisely, and Spend Efficiently: Public Finance in the Pandemic Recovery.”
Omukago guno gwatandiikibwa ba ssentebbe bobukiiko buno okuwangana amagezi ku ngeri yokulwanyisaamu obulyi bw’enguzi n’ababba ensimbi zoomuwi w’omusolo.
Alipoota eyokolebwa mu mwaka 2020 ekwata ku bubbi bw’ensimbi zomuwi w’omusolo n’okukusa ensimbi eya illicit Finacial Flows, yalaga nti buli mwaka olukalu lwa ssemazinga Africa lufiirwa obuwumbi bwa doola za america 88, ezibbibwa abalyi benguzi n’ababbi b’ensimbi zoomuwi w’omusolo buli mwaka.
Ensimbi ezo ezibbibwa zikola ebitundu 3.7% ku by’obugagga by’amawanga gonna aga ssemazinga Africa.
Ttabamiruka w’omulundi guno yetabiddwamu ababaka ba parliament abalala okuva mu Uganda okuli David Likyamuzi Kalwanga owa Busujju ,Abudalla Kiwanuka owa Mukono North nabalala
Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Owek. Mathias Mpuuga Nsamba ayozaayezezza Medard Ssegona olwokutuuka ku buvunaanyizibwa buno, era amuwabudde ayongeremu amaanyi ebibala byekifo ekimulondeddwamu birabibwe wano mu Uganda n’ebweru wa Uganda.#