
Akakiiko akafuzi aka Makerere University kataddewo olukiiko lw’abantu 6, okukwatagana ne police okunoonyereza nókwekenneenya ebyabaddewo mu kalulu kókulonda abakulembeze bábayizi, omwakoleddwa effujjo eryafiiriddemu omuyizi.
Akakiiko kano kaakulemberwa Associate Professor Hellen Nambalirwa Nkabala, amyukibwa Rt. Hon. Daniel Kidega, omumyuka wa ssentebe wa Makerere University council.
Ba memba boolukiiko abalala kuliko Eng Dr S.P Kagoda, Associate Professor Sarah Ssali, Bruce Kabaasa Balaba ne John Chris Ninsiima.
Olukiiko luno lwakunonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abayizi okusiiwuuka empisa nebalwanagana, omwafiridde munnabwe Betuungura Bewatte ow’emyaka 27.
Omuyizi eyafudde abadde muyizi webyamateeka ku ssetendekero wa Uganda Christian University ettabi lya Kampala.

Betuungura yabadde yeetabye mu kunoonyeza mukwanogwe Justus Tukamushaba owa FDC akalulu, ku bwa guild president wa Makerere University.
Ab’enkambi ya FDC baafunye obutakaanya n’ab’enkambi ya NUP, ekulembeddwamu Lawrence Alionzi amanyiddwa nga Dangote ngoono yakwatidde NUP bendera ku bwa guild president.
Olukiiko luno luweereddwa omwezi gumu gwokka okufulumya alipoota ekwata ku nsonga eno, nookuddamu okukuba tooki mu ssemateeka afuga okulondebwa n’entambuza y’emirimu mu bukulembeze bw’abayizi mu University eno.
Olukiiko luno era luyimirizza mbagirawo okulonda kw’abayizi n’obukulembeze bwabwe bwonna obwekiseera obubaddeko.

Yusuf Kiranda omuwandiisi w’olukiiko lwa yunivasite e Makerere bwabadde ayogerako eri bannamawulire akawungeezi k’olwa leero ategeezeza nti University siyakuddamu kugumiikiriza muyizi yenna eyetaba mu bikolwa ebyekko.
” Omuntu yenna anaazuulibwa nti yetabye mu bikolwa ebyavuddeko okuttibwa kw’omuyizi ono, wakuvunaanibwa nga obuyinza bwebulagira ” Kiranda bwagambye
University era esazeewo nti okulonda kw’obukulembeze bw’abayizi kwonna okuliddamu okubaawo kwa kubeera ku mitimbagano.
Bisakiddwa : Ddungu Davis