Abaddukanya eddwaliro ekkulu mu district ye Gomba erya Maddu Heath centre 4 beekubidde enduulu eri abakulu mu ministry y’ebyobulamu mu ggwanga, babongere ku bungi bw’eddagala, bagamba abalwadde abava mu bitundu ebirala abaryettanira beyongedde.
Amyuka akulira eddwaliro lya Maddu Health centre 4 Gomba, nga ye Ssebyala Hamidu bino abiyisizza mu mubaka wa parliament omukyala owa district ye Gomba Sylivia Nayeebale.
Agambye nti bafuna abalwadde bangi abava mu district ezibeetoolodde Gomba okuli district eye Mityana, Mubende ne Ssembabule.
Nayeebale atonedde eddwaliro ebitanda abakyala kwebazaalira n’ebitanda by’abalwadde abalala, wamu n’emifaliso.