Alipoota y’ekibiina ky’amawanga amagatte eraze nti mu mwezi oguyise gwokka ogwa November, abayeekera ba M23 abajojobya government ya Democratic Republic of Congo batta abantu babulijjo 131 abaali abatuuze mu bitundu byeyawamba okuli Kishishe ne Bambo.
Alipoota eno enyonyodde nti abayekera bano tebaakoma kukutta basaalumanya, wabula baawamba abantu, baasobya ku bakazi saako okunyagulula ebintu.
Okunoonyereza kuno kwakoleddwa eggye ly’ekibiina ky’amawanga amagatte erikuuma emirembe mu buvanjuba bwa DRC erya MONUSCO saako ebibiina by’eddenbe ly’obuntu ebyegattira mu mukago gu Joint Human Right office (UNJHRO).
Wabula alipoota eno eraga nti government ya DRC erumiriza nti abayeekera ba M23 baatirimbula abantu babulijjo 272 mu mwezi oguyise.
Omwogezi wabayeekera ba M23 Lawrence Kanyuka ebyafulumidde mu alipoota eno byonna abiwakanyizza naagamba nti byabulimba ,era Ono alumiriza ekibiina kyamawanga amagatte okukolera ku biragiro bya government ya DRC okubasiiga enziro.
Mu kiwandiiko M23 kyefulumizza, abayeekera bagala wabeerewo ekitongole ekirala ekyetongodde kinoonyereze mu bwesimbu, ku bantu ba bulijjo abagambibwa okuba nti bebattibwa abayeekera ba M23 mu bitundu byebaawamba mu DRC, ate banoonyereze ne mu bitundu ebirala nga Bwiza ne Kitchanga
Omwezi oguwedde ogwa November, abayeekera ba M23 baawamba ebitundu ebiriraanye Uganda ne Rwanda ,wabula newankubadde baalagirwa okubyamuka, nakati bakyagumbye mu bitundu ebyo
Wiiki eno government ya United States of America yalumiriza Rwanda nti yevugirira abayeekera ba M23.
Minister wa America ow’ensonga z’amawanga amalala Anthony Blinken mu nsisinkano gyeyalimu ne president wa Rwanda ,Maj Gen Paul Kagame yamubuulira kaati nti government ye ekomye mbagirawo okuvugirira abayeekera ba M23.#