Sipiika wa parliament Anita Annet Among alagidde akakiiko k’eby’obusuubuzi kanoonyereze ku nsonga eziviirako abalimi b’ebikajjo ebivaamu sukaali okudondolwa.
Omubaka wa Nakifuma county mu district ye mukono Fred Simbwa yatutte ensonga eno mu parliament ng’agamba nti ebbeeyi ya sukaali ekyekanamye.m nti kyokka abalimi b’ebikajjo babibagulako ku layisi.
Kilo ya sukaali ku ssaawa eno egulwa wakati 5000= nakakaaga, 6000 /=
Wabula minisita omubezi owebyobusuubuzi Harriet Ntabazi byayanukudde tebimatiza parliament era wano sipiika wa parliament walagiridde akakiiko ka parliament akebyobusubuzi okunonyereza ku nsonga eno, oluvanyuma kakomewo nalipoota enambulukufu kajanjulire palament.#
Bisakiddwa: Nabagereka Edith