
Lord mayor wa Kampala wamu nólukiikolwe baddukidde mu kooti enkulu, bagala eyimirize ebikwekweto byonna ebyókuyimiriza bodaboda nábatembeeyi mu kibuga Kampala.
Lord Mayor Ssalongo Erias Lukwago agambye nti minister wa Kampala, omubeezi we ne RCC we Lubaga, nti baliko ebikwekweto byebaasazeewo, nga tebasoose kugoberera mateeka.
Awadde ekyókulabirako ekya shilling emitwalo 60,000 egyassibwawo abakulembeze mu Kampala, ezirina okusasulwa abagoba ba bodaboda okukeberebwa emitwe, nga tebanakkirizibwa kukolera mu Kampala.
Annyonyodde nti enkola ya Smart City erina okulambululwa obulungi nga tenyigiriza bannakampala, nga buli ekikolebwa kigoberera amateeka.
Mu luku𝝶aana lwámawulire lwebatuuzizza ku City Hall mu Kampala, Lukwago agambye nti baasabye kooti eragire government okufulumya ensimbi ezirina okuteekesa mu nkola, enteekateeka Namutaayiika (Master Plan) y’okuddukanya ekibuga Kampala.
Mu ngeri yemu bagala Kooti eyise ekiragiro ekiggya bunnambiro ebitongole byonna ebikuuma ddembe naddala amagye , ebyateekebwawo okugoba abatembeeyi ne Bodaboda ku nguudo.
Bisakiddwa: Nakato Janefer