Essaza lya Ssabasajja Kyaggwe erikulemberwa Ssekiboobo Elijah Boogere liwangudde empaka z’amasaza e 18 , era nga lyerigenda okukuzibwamu olunaku lwa government ez’ebitundu.
Bulemeezi yeekutte ekifo ekyokubiri,Butambala kyakusatu,Buddu emalidde mu kifo kyakuna.
Gomba ekutte kyakutaano, ate Buluuli n’ekwebera.
Gombolola ya Mutuba 4 Kawuga mu Kyaggwe yesinze mu gombolola zonna, neddirirwa Mumyuuka Butuntumula mu Bulemeezi, mu kyokusatu Ssaabagabo Kakindu Busujju, Kabulassoke Gomba mu kifo kyakuna, Songa Ssabaddu Magoye e Ssese neemalira mu kifo ekyokutaano.
Empaka zino zesigamiziddwa ku nkola yémirimu egyenkulakulana mu bantu ba Ssabasajja Kabaka.
Jebuvuddeko olukiiko lwatalaaga obuganda nga lwekenenya enkola yémirimu, enkulakulana etukiddwako, obuyiiya munkola y’emirimu, polojekiti nénkuuma yébiwandiiko.
Katikkiro abadde alambula eggomboloya ya Mutuba III Makindye olunaku olwaleero, yalangiriridde ebyava mukunonyereza, era n’akuutira abaami mu magombolora agatakoze bulungi okukoppa banaabwe ababasinze.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaami ba Ssaabasajja ku buli mutendera, okwenyigira mu mirimu egitwala Buganda mu maaso, omuli neegyo gyonna egigenda okutuusa Uganda ku nfuga eya Federo.
Katikkiro mu ngeri eyenjawulo yebazizza abaami ba Ssaabasajja mu gombolola Makindye mutuba iii ,olwobuwulize eri Ssabasajja.
Katikkiro Charles Peter Mayiga olunaku lwa leero alumazeeko alambula emirimu egikolebwa abantu ba Kabaka mu gombolola ye Makindye.
Ebimu ku bifo Katikkiro byalambuddemu gombolola ya Makindye mutuba iii,mubaddemu Climax Entertainment Hub Makindye, ku kitebe kyegombolola ya Mutuba iii Makindye ,ne ku Fission Auto spur and Hotel e Munyonyo
Minister omubeezi owa government z’ebitundu Owek Joseph Kawuki, yebazizza obukozi obwoleseddwa mu Masaza ga Ssaabasajja, mungeri yeemu naasaba abatakoze bulungi okwongeramu amaanyi.
Atwaala essaza Kyaddondo Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa, agambye nti newankubadde abantu ba Kabaka bakola obutaweera, bakyasomoozeddwa nnyo ekibba ttaka.
Meeya w’egombolola Makindye Ali Kasirye Mulyannyama, abuulidde Katikkiro okusomooza okuli mu Bantu ba Beene okwenjawulo, omuli n’okusibwa kw’ababaka babwe Allan Ssewanyana me Muhammed Ssegirinnya.
Omukolo gwetabyeko ne Loodi meeya Ssalongo Erias Lukwago.
Omwaami wa Kabaka atwaala gombolola Haji Musa Ssemmambo, ategeezezza Kamalabyonna nti obumu obwoolesebwa abantu ku buli mutendera bwebukuumidde gombolola eno ku ntikko.
Bisakiddwa: Kato Denis