Sipiika wólukiiko lwa Buganda Patrick Luwagga Muggumbule akubirizza abantu ba Kabaka abaliko emirimu gyebakola ku kibuga okwettanira obulimi nóbulunzi bwebaba nga baagala obulamu bubanguyire.
Sipiika abadde atikkula oluwalo lwa bukadde bwa shs 100,590,000/= eziweereddwayo essaza Kyadondo ne Butambala.
Obukadde 99,000,000/= buvudde Kyadondo mu ggombolola okuli Mukulu wa Kibuga, Nabweru, Kawempe, Ssabagabo Lufuka, Nakawa wamu n’abagoba ba Taxi abegattira mu kibiina kya UTOF.
So nga n’abakulembeze abebyobufuzi okuva e Butambala nabo baleese oluwalo lwa bukadde bwa shilling busobye mu 2.
Owek Joseph Kawuki nga ye minisita omubeezi owa government ezébitundu mubwakabaka yebazizza abantu ba Kabaka olwobujjumbize.
Abagoba ba Taxi mu kibiina kyabwe Uganda Taxi Operators Federation (UTOF), bakulembeddwamu ssentebe wabwe, Rashid Ssekindi ne Mustafah Mayambala.
Gombolola ezikiise kubaddeko; Mutuba IV Kampala Masekkati; Ssaabawaali Gombe; Mukulu wa Kibuga Lubaga; Mumyuka Nakawa; ne Mutuba III Makindye.
Gombolola endala kuliko; Ssaabagabo Lufuka; Mutuba V Kawempe; Musaale Busukuma ne Mutuba II Nabweru.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred