
Kkooti enkulu erangiridde olwa nga 10th October, 2022 okutandika okuwulira omusango munnamawulire Ashraf Kasirye gweyaloopa ebitongole byebyokwerinda mwabirumiriza okumutuusako obuvune.
Kigambimbwa nti nga 3rd December 2020, bweyali akwata kampeyini za president wa NUP Robert Kyagulanyi Sentamu mu bitundu bye Masaka ne Lwengo, Kasirye yakubwa essasi ku mutwe ekyamuviirako okufuna obuvune ku kawanga.
Yatwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Masaka gyeyagyibwa nasindikibwa mu ddwaliro e Lubaga naloongosebwa akawanga, era yamala ekiseera ekiwera ngali mu kkoma.

Ashiraf Kasirye bweyasuuka yakuba ebitongole byebyokwerinda mu mbuga z’amateeka, ngayagala bimuliyirire ensimbi zasaasanyizza mukujjanjabwa saako nokuliyirirwa olwebikolwa ebyamutuusibwako ngagamba nti byazingamya emirimu gye.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Musa Sekaana agambye nti wakutandika okuwulira omusango guno omwezi ogwekkumi, oluvannyuma awe ensala ye okusinziira kubujulizi obunaaletebwa enjuyi zonna mu musango guno.
Kasirye mu musango guno yategeeza kkooti nti bweyali yakasasanya obukadde bwa shs 75 okwejjanjaba, ngera akozesa emitwalo 38,000 buli lunaku okufuna eddagala eryamulagibwa okukozesa okumala ekiseera ekitannamanyika.

Ayagala kkooti erangirire nti ebikolwa ebyamutuusibwako byali birinnyirira eddembe lye era ababimutuusaako bakangavvulwe.