
Kooti ejulirwamu egobye okusaba okwassibwayo ababaka Muhammad Ssegirinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West, nga bawakanya ensala yómulamuzi wa kooti enkulu e Masaka Lawrence Tweyanze, eyagaana okubayimbula ku kakalu ka kooti.
Kooti yategeeza nti emisango egibavunaanibwa gya naggomola, era ngábabaka basobola okubaako engeri gyebagotaanya okunoonyereza ku misango ebibavunaanibwa singa bayimbulwa.
Ensala yábalamuzi ba kooti ejulirwamu abasatu abakulembeddwa Cheborion Barishaki, etegezezza nti okubaka okwengeri eno bakutwala mu kooti nkyamu.
Bagambye nti omusango gwebalina okuwulira gwandibaddewo nga kooti yawa dda ensala mu misango egibavunaanibwa, so ssi gwakubalemesa kufuna kakalu ka kooti.
Wabula kooti egambye nti olwókuba nti bano babaka ba parliament era balina abantu bebalina okukiikirira,balagidde omuwandiisi wa kooti okutwala okusaba kwábabaka ewómulamuzi wa kooti omukulu, ensonga zabwe ziwulirizibwe bafune obwenkanya.
Ssegirinya ne Ssewanyana, bakamala ku alimanda emyezi 9, nga bavunaanibwa emisango okuli egyóbutujju, obutemu, n’egyokugezaako okutta omuntu.
Kigambibwa nti ababaka bano benyigira mu ttemu lyébijambiya eryasaanikira ebitundu bye Masaka, abantu abasoba mu 30 nebalusuulamu akaba.