
Kooti enkulu mu Kampala egobye omusango gwa bannakibiina kya NRM 23, abaawawabira ekibiina kyabwe olw’okubalemesa okwesimbawo okuvuganya ku bifo by’ababaka ba parliament y’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa (EALA).
Ababaka bano abakulembeddwamu Jossy Niwabiine balagiddwa okuliyirira ekibiina ensimbi zekisaasanyirizza mu musango guno.
BannaNRM 23 baddukira mu kooti nga 8 July, 2022, nga bawakanya ekyasalibwawo akakiiko ka NRM akoku ntikko CEC, eyasalawo nti tebategeka kulonda kwa kibiina, wabula ababaka abaliyo babongere ekisanja ekirala ekya 2022-2027.
Bannakibiina abaali bagala okuvuganya ku bifo ebyo baakiwakanya, nga bagamba nti kirinnyirira demokulasiya, era sikyabwenkanya.
Omulamuzi Musa Ssekaana agambye nti abawaabi baalina okukozesa amakubo gonna mu kibiina okutuusa okwemulugunya kwabwe, nga tebanaddukira mu mbuga z’amateeka.
Omulamuzi Ssekaana agambye nti kooti tezirina buyinza bweyingiza mu nkola y’emirimu gy’ekibiina egyomunda.
Abalagidde nti bwebaba tebamatidde na kyasalibwawo bakulu mu kibiina, balina eddembe okuva mu kibiina kino ekya NRM nebanoonya gyebanafunira emirembe.
Omulamuzi Ssekaana omusango agugobye n’abalagira okusasulira ensimbi zonna ekibiina kya NRM zekisaasanyirizza mu musango.
Bisakiddwa: Betty Zziwa