Eddwaliro lya Kisenyi Health Center 1V Liweereddwa engule y’omwaka 2022, olw`okunnywa mu malwaliro gonna akendo mu kuzaliisa n`okulabiriira obulungi abakyala ab’embuto.
Engule eno eya Safe Motherhood Award ewanguddwa eddwaliro lya KCCA erya Kisenyi H/C IV erigiwereddwa ministry y’ebyobulamu n’ekitongole ky`obwanakyewa ekya Save The Child, olw`omutindo gwekyolesezza omwaka guno mukuzaliisa, okulabiriira bannakawere n’abaana babwe.
Ebibalo biraga nti buli mwaka, eddwaliiro lya Kisenyi Healthy Center 1V lizaliisa abakyala 10,000, ate abakyala abembuto 12,000 bebanywerayo eddagala.

Dr Egesa Elizabeth akulira eddwaliiro lino, agambye nti engule enno bajiwangudde lwabukozi bwabwe n’okuba n’omukwano eri abakyala abazaala, wabula awanjagidde KCCA okwongera okubakwasizaako nga balongoosa embeera mwebakolera.
Ssenkulu wa KCCA Dorothy Kisaka, mu bubaka bwe obumusomeddwa Dr. Zalwango Sarah amyuka akulira eby`obulamu ku KCCA, agambye nti eddwaliro lino okuwangula engule libadde lisaniidde, olwomutindo gweboolesa mu nkola y’emirimu.
Bisakiddwa: Musisi John