
Abaana 125 bebayooleddwa ku nguudo za Kampala, n’abantu abakulu 10 bakwatiddwa ku bigambibwa nti bebabaleeta okusabiriza ku nguudo.
Ekitongole kya Kampala Capital Authority ekikwasisa amateeka, kye kikoze ekikwekweto kino olwa leero.
Abaana bano 125 batwaliddwa e Masuuliita ewali ekifo ekikuumirwamu abaana ekimanyiddwa nga Masuuliita Children’s Home, gyebagenda okubudwabudwa nga bwebanoonya abewaabwe.
Abantu abakulu 10 abakwatiddwa kigambibwa nti bebamu ku kabinja k’abakukusa abaana okubaggya mu bitundu by’e Kalamojja okubaleeta mu kibuga okubakozesa okubafunamu ssente.
Basuubirwa okusimbibwa mu kooti baggulweko emisango omuli okukukusa abaana abato, okubalemesa okusoma, okubakozesa emirimu egitagya mu myaka gyabwe, okufuna ssente mu lukujjukujju n’emirala.
Guno gwe mulundi ogw’okusatu nga KCCA ekola ebikwekweto okuyoola abaana b’okunguudo, nga woosomera bino, abaana abasoba mu 600 bebakaggibwa ku nguudo z’ekibuga.
Mu ngeri yeemu abantu abakulu abawerera ddala 36 abakukusa n’okukozesa abaana abano ku nguudo bagombeddwamu obwala mu bikwekweto bino, nga ku bano 23 bakyali ku alimanda ate abalala baasingisibwa emisango era nebaggalirwa mu kkomera.

Gyebuvuddeko KCCA yayisa etteeka erigufuula omusango okukozesa omwana omuto okusabiriza ku nguudo, n’okwefuula anoonya obuyambi mu bifo byonna omukungaanira abantu.
Omuntu yenna omusango guno gwegukka mu vvi, asibibwa mu kkomera ebbanga eritakka wansi wa myezi mukaaga, oba okuweesebwa engassi ya nsimbi emitwalo ena (40,000/-).
Loodi mmeeya Ssaalongo Erias Lukwago, agamba nti abaana abasabiriza ku nguudo za Kampala kizibu kyennyini ekyetaaga okusarira amagezi agaawamu, bwatyo n’asaba Parliament okubaako kyekola ekyamangu ku nsonga eno efunirwe eddagala ery’enkomeredde.
Etteeka lya KCCA, ligiwa ebbeetu okuyoola abaana bonna abasangibwa nga beenyigidde mu bikolwa eby’okusabiriza oba okukola omulimu gwonna ogukontana n’emyaka gyabwe.
Mu tteeka lyerimu KCCA eweebwa ebbeetu okukwata n’okutwala mu kkooti omuntu yenna asendasenda omwana okusabiriza oba okubeera ku nguudo.
Bisakiddwa: Achileo Kamulegeya K.