
Club ya KCCA ekansizZa omuteebi munnansi wa Democratic Republic of Congo Simon Tshisungu Kankonde, okwongera okuggumiza olugoba oluteebi, nga betegereka sizoni ejja eya 2022/2023.
Simon Kankonde atadde omukono ku ndagaano ya myaka 2 nga acangira club eno endiba, era afuuse omuzannyi ow’okutaano omupya okwegatta ku KCCA mu kwetegekera sizoni ejja.
Abazannyi abalala ye Moses Waisswa, Faizal Wabyoona, Saidi Mayanja ne Allan Enyou.
KCCA FC ng’etendekebwa Morley Byekwanso, season ewedde yamalira mu kifo kyakubiri nga Vipers eyawangula ekikopo yabasinga obubonero 18.