
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abavubuka naddala bana bitone abali mu mulimu gwókuyimba, okutwala omulimu guno nga ekintu ekyómuwendo, mwebatekeddwa okweyisiza obulungi nga bakulembeza obuntubulamu nóbwetowaze.
Katikkiro bino abyogeredde ku mbuga ya Buganda enkulu e Bulange e Mengo, bwadde asisinkanyemu omuyimbi Moses Matovu owa Afrigo Band, okumuyozayoza okutuuka ku mazalibwaage agémyaka 73.
Moses Matovu yazaalibwa nga 19 June,1949.
Ate mu Afrigo band agenda kuwezaamu emyaka 47 egy’obukulu mu mwezi gwa November omwaka guno ng’asanyusa bannauganda, era yoomu ku baagitandikawo.
Katikkiro atanderezza Moses Matovu omulimu amakula gwákoze mu kisaawe kyókuyimba omuli okuyiiya ennyimba eziwomera abantu era ezizimba eggwanga ate nókukwata ku bitone ebito.
Moses Matovu yebazizza Ssabasajja lwe yamusiima olwómulimu guno ogwókuyimba nékibiina kyákolera ekya Africa Band.
Moses Matovu yennyamidde olw’amateeka agakwata ku biyiiye okuva nga tegabayamba, nebakomekkereza nga tebaganyuddwa kimala mu mulimu gwabwe.
Wabula olwa leero parliament ekkiriza omubaka wa Mawokota North Hillary Kiyaga okukola okunoonyereza akole alipoota y’ennongosereza mu tteeka lino.
Bisakiddwa:Issah Kimbugwe