
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayolekedde mawanga ga Bulaaya, gy’agenze okusisinkana abantu ba Kabaka abali eyo naddala abavubuka okubalambika mu nteekateeka z’Obwakabaka bwa Buganda.
Agamu ku mawanga Katikkiro Mayiga mwagenda okutuuka mulimu Bungereza,Norway, Sweden, Netherlands n’amalala.
wakusisinkana abavubuka abasomera wamu n’Okukolera e Bulaaya.
Katikkiro era ayagala abantu ba Ssaabasajja abakolera e Bulaaya,babeeko entekateeka zebakola mu kulambika abaana n’abavubuka okukozesa emikisa gyebalina basome, ate n’okusiga ensimbi mu Uganda.
Katikkiro agambye nti wakunnyikiza ensonga za Buganda ssemasonga ettaano, ezigenda okukomekkerezebwa mu mwaaka 2023, era abanjulire n’entekateeka ezigenda okuddako.
Minister omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu era nga yavunaanyizibwa ku bantu ba ssabasajja abali ebweru wa Buganda Owek Joseph Kawuki , agambye Obwakabaka bwakukuumira abantu baabwo okwetoloola ensi eno mu kutambulira awamu, okutuukiriza ebiruubirirwa byabwo.
Katikkiro agenze n’Omutaka ow’akasolya ow’ekika kye Ffumbe Omutaka Walusimbi Makubuya Yusuf Mbirozankya Kigumba II, akulira enteekateeka z’abagenyi mu Bwakabaka Omuk David Ntege n’abakungu abalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis