
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde government amagezi, okutereeza embeera y’eby’obusuubuzi abantu gyebakoleramu, esobole okubaagazisa okuwandiisa business zabwe eyanguyirwe okusolooza emisolo egyegasa.
Katikkiro abadde asisinkanye abakungu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa business ne kampuni ki Uganda Registration Services Bureau mu Bulange e Mengo.
Agambye nti munsi emirimu gy’eby’obusuubuzi bwezitakulakulanyizibwa, kibeera kizibu eggwanga okuva ku lubu lw’abankuseere.
“Ekimu ku bisinga okweyambisibwa okuleeta enkulaakulana, mirimu gyabyabusuubuzi, munsi yonna” Katikkiro Mayiga
Katikkiro mu ngeri yeemu agambye nti wakyaliwo obwetaavu okuteeka ebintu ebiyiiye ebyenjawulo, Obuwangwa nénnono mu mateeka , kibitaase abanyazi abayinza okubitwalira mu mateeka nebafiiriza Obuganda ne Uganda.
“Obuwangwa n’ennono mu kyasa ekya 21 birina kukuumibwa mateeka agaliwo”Katikkiro Mayiga
Ssaabawolereza wa Buganda era minister wa government ez’ebitundu mu Bwakabaka Owek Christopher Bwanika ,agambye nti enkolagana ennungi wakati wa Uganda Registration Services Bureau n’Obwakabaka nnungi ddala, ekisobozesezza ebitongole by’Obwakabaka okukolera mu mateeka awatali kutataaganyizibwa.
Minister wÓbuwangwa nénnono era avunaanyizibwa ku Mbiri nébyokwerinda mu Bwakabaka Owek David Kyewalabye Male agambye nti ssinga wabaawo amateeka agalu𝝶amya emirimu gy’obuwangwa , Buganda yaakufuna mu nteekateeka zaayo okutambulizibwa Obuwangwa nénnono.

Mercy Kayinobwisho nga yaakulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa kampuni n’ebintu ebiyiiye mu Uganda ki Uganda Registration services Bureau, agambye nti bagezezzaako okuwandiisa ebintu omuli ebiyiiye mu mateeka, kyokka wakyaliwo abalala bangi abeewala okuwandiisa Business nebafiiriza eggwanga.
Charles Nsimbi nga yavunaanyizibwa ku kuwandiisa obufumbo mu kitongole kino asabye wabeewo enkola eyÓkuwandiisa Obufumbo mu mateeka, kitaase ku bakyala ababonaabona mu biseera nga bafiiriddwa abaami, nebaviiramu awo.
Bisakiddwa: Kato Denis